Exodus 15:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Musa n'Abayisirayeli ne bayimbira Omukama oluyimba luno, ne bagamba nti: “Ka nnyimbire Omukama oluyimba, kubanga ddala assukkulumye; embalaasi n'omwebagazi abikasuse mu nnyanja.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Musa n’abaana ba Isirayiri ne bayimbira Mukama oluyimba luno nga bagamba nti, “Nnaayimbiranga Mukama, kubanga awangudde n’ekitiibwa kingi. Asudde mu nnyanja embalaasi n’omwebagazi waayo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa n'abaana ba Isiraeri ne balyoka bayimbira Mukama oluyimba luno nti, “Ndimuyimbira Mukama, kubanga yawangulidde ddala; Embalaasi n'omwebagazi waayo yabisudde mu nnyanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Musa n'Abayisirayeli ne bayimbira Mukama oluyimba luno: “Ka nnyimbire Mukama, kubanga awangulidde ddala! Asudde mu nnyanja embalaasi n'abeebagazi baazo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa n'abaana ba Isiraeri ne balyoka bamuyimbira Mukama oluyimba luno ne boogera nti Ndimuyimbira Mukama, kubanga yawangulidde ddala: Embalaasi n'omwebagazi waayo yabisudde mu nnyanga.