Exodus 15:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okutya n'ensisi bibakutte; olw'obuyinza bw'omukono gwo, bakalambadde ng'ejjinja, okutuusa abantu bo lwe banaayitawo; Mukama, okutuusa lwe banaayitawo, abantu bo bano be weefunira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okwesisiwala n’entiisa biribajjira. Olw’omukono gwo ogw’amaanyi tebalinyega, balisirika ng’ejjinja okutuusa abantu bo lwe baliyitawo, Ayi Mukama, okutuusa abantu bo, be wanunula, lwe baliyitawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okutekemuka n'entiisa bibaguddeko; Mu bukulu obw'omukono gwo batudde ng'ejjinja; Okutuusa abantu bo lwe balisomoka, Mukama, Okutuusa abantu lwe balisomoka be wanunula.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okutekemuka n'entiisa bibaguddeko olw'obuyinza bwo obw'amaanyi. Bali ng'amayinja agateenyeenya, okutuusa abantu bo lwe bayitawo. Ne baleka abantu bayitewo, abantu be wanunula, ayi Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okutekemuka n'entiisa bibaguddeko; Mu bukulu obw'omukono gwo batudde ng'ejjinja; Okutuusa abantu bo lwe balisomoka, Mukama, Okutuusa abantu lwe balisomoka be weefunira.