Exodus 15:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eggye lya Faraawo bwe lyayingira ennyanja, n'ebigaali bye n'abeebagazi, Omukama n'azza ku bo amazzi g'ennyanja, sso ng'Abayisirayeli baatambulira ku ttaka kkalu mu makkati gaayo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Embalaasi za Falaawo, n’amagaali ge, ne basajja be abeebagadde embalaasi bwe baayingira mu nnyanja, Mukama n’akomyawo amazzi ag’ennyanja ne gabasaanikira; naye nga bo abaana ba Isirayiri batambulira ku ttaka kkalu wakati mu nnyanja.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Embalaasi za Falaawo ne ziyingira wamu n'amagaali ge, n'abeebagala mu nnyanja, Mukama n'azzaawo amazzi ag'omu nnyanja ku bo; naye abaana ba Isiraeri ne batambula ku lukalu wakati mu nnyanja.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayisirayeli baayita mu nnyanja nga batambulira ku ttaka ekkalu. Naye amagaali ga kabaka w'e Misiri awamu n'embalaasi ze n'abazeebagala, olwayingira mu nnyanja, Mukama n'azzaawo amazzi, ne gababuutikira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga embalaasi za Falaawo ne ziyingira wamu n'amagaali ge n'abeebagala mu nnyanja, Mukama n'azzaawo amazzi ag'omu nnyanja ku bo; naye abaana ba Isiraeri ne batambula ku lukalu wakati mu nnyanja.