Exodus 15:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Miriyamu omulanzi, mwannyina Aroni n'akwata akagoma, abakazi bonna ne bavaayo ne bamugoberera n'obugoma nga bazina.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Miryamu, nnabbi omukazi era mwannyina wa Alooni, n’akwata ekitaasa; n’abakazi abalala ne bamugoberera nga balina ebitaasa era nga bwe bazina.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Miryamu, nnabbi, mwannyina Alooni, n'atwala ensaasi mu mukono gwe; abakazi bonna ne bafuluma ne bamugoberera nga balina ensaasi nga bazina.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Miriyamu omulanzi, mwannyina wa Arooni, n'akwata ensaasi, abakazi bonna ne bamugoberera nga bakuba ensaasi era nga bazina.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Miryamu, nabbi, mwannyina Alooni, n'atwala ensaasi mu mukono gwe; abakazi bonna ne bafuluma ne bamugoberera nga balina ensaasi nga bazina.