Exodus 15:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Miriyamu n'abakulemberamu ng'ayimba nti: “Muyimbire Omukama, kubanga ddala asukkulumye; embalaasi n'omwebagazi abikasuse mu nnyanja.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Miryamu n’abayimbira bw’ati nti, “Muyimbire Mukama, kubanga awangudde n’ekitiibwa kingi. Asudde mu nnyanja embalaasi n’agyebagadde.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Miryamu n'ayimba nti, “Muyimbire Mukama, kubanga yawangulidde ddala; Embalaasi n'omwebagazi waayo yabisudde mu nnyanja.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Miriyamu n'abayimbira oluyimba nti: “Muyimbire Mukama, kubanga awangulidde ddala. Asudde mu nnyanja embalaasi n'abeebagazi baazo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Miryamu n'abaddamu nti Mumuyimbire Mukama, kubanga yawangulidde ddala; Embalaasi n'omwebagazi waayo yabisudde mu nnyanja.