Exodus 15:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne batuuka e Mara, ne batasobola kunywa mazzi g'e Mara, gaali gakaawa. Ekifo ekyo kyekyava kituumibwa Mara.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe baatuuka e Mala, ne batasobola kunywa ku mazzi gaawo, kubanga gaali gakaawa: era eyo y’ensonga eyatuumisa ekifo ekyo Mala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe baatuuka e Maala, ne batayinza kunywa ku mazzi gaayo, kubanga gaali gakaawa; Ekifo ekyo kyekyava kiyitibwa Maala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe baatuuka e Mara, ne batayinza kunywa mazzi gaayo, kubanga gaali gakaawa. Ekifo ekyo kyekyava kiyitibwa Mara.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe baatuuka e Mala, ne batayinza kunywa ku mazzi ge Mala, kubanga gaali gakaawa: kyekyava kiyitibwa erinnya lyakyo Mala.