Exodus 15:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa n'awanjagira Omukama. Omukama n'amulaga ekitundu ky'omuti; Musa n'agusuula mu mazzi, amazzi ne gawooma. Eyo Omukama gye yabassizaako ekiragiro n'etteeka. Eyo gye yabassiza ku kigezo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Musa ne yeegayirira Mukama; Mukama n’amulaga ekitundu ky’omuti. Bwe yakisuula mu mazzi, amazzi ne gaba malungi okunywa. Mu kifo kino Mukama we yabaweera ekiragiro kino n’etteeka, era n’abagezesa
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa n'akaabirira Mukama; Mukama n'amulaga omuti, n'agusuula mu mazzi, amazzi ne gafuuka amalungi. Awo we yabaweera etteeka n'ebiragiro, n'abagereza eyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa ne yeegayirira Mukama, Mukama n'amulaga omuti, Musa n'agusuula mu mazzi ne gafuuka amalungi. Eyo Mukama gye yabaweera amateeka ge banaagobereranga, era eyo gye yabagereza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'akaabira Mukama; Mukama n'amulaga omuti, n'agusuula mu mazzi, amazzi ne gafuuka amalungi. Awo we yabalagirira etteeka n'e mpisa, n'abakemera awo;