Exodus 15:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'agamba nti: “Ggwe wamma, bwe muliwulira n'obwegendereza eddoboozi ly'Omukama Katonda wammwe, ne mukola ekituufu mu maaso ge, bwe mulissa omwoyo ku biragiro bye ne mukwata amateeka ge gonna, sigenda kubaleetera ndwadde ze naleetera Abamisiri, kubanga Nze Mukama akuwonya.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ng’agamba nti, “Singa muwuliriza eddoboozi lya Mukama Katonda wammwe n’obwegendereza, ne mukola ebyo by’alaba nga bituufu, ne mussaayo omwoyo ku biragiro bye, era ne mugondera amateeka ge, sigenda kubaleetako ndwadde n’emu, ng’ezo ze naleetera Abamisiri, kubanga nze Mukama, nze mbawonya endwadde zammwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ayogera nti, “Bw'oliwulirira ddala eddoboozi lya Mukama Katonda wo, n'okola obutuukirivu mu maaso ge, n'owulira amateeka ge, n'okwata by'alagira byonna, sirikuteekako ggwe endwadde zonna ze nnateeka ku Bamisiri; kubanga nze Mukama akuwonya.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'agamba nti: “Bwe muliwulira n'obwegendereza, nze Mukama Katonda wammwe bye mbagamba, ne mukola ebituufu mu maaso gange, ne mutuukiriza amateeka gange, era ne mukwata bye mbalagira byonna, siribalwaza ndwadde ze nalwaza Abamisiri, kubanga Nze Mukama abawonya mmwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'ayogera nti Oba nga oliwulira nnyo eddoboozi lya Mukama Katonda wo, n'okola obutuukirivu mu maaso ge, n'owulira amateeka ge, n'okwata by'alagira byonna, sirikuteekako ggwe endwadde zonna ze nnateeka ku Bamisiri: kubanga nze Mukama akuwonya.