Exodus 15:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebigaali bya Faraawo n'eggye lye abikasuse mu nnyanja; abagabe be ab'oku bigaali batokomokedde mu Nnyanja ey'Ebiwuuwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amagaali ga Falaawo n’eggye lye abisudde mu nnyanja; n’abaduumizi b’amaggye ge abalondemu basaanyeewo mu Nnyanja Emyufu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amagaali ga Falaawo n'eggye lye yabisudde mu nnyanja; N'abakungu be be yalonda basaanyeewo mu Nnyanja Emmyufu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Asudde mu nnyanja amagaali ga kabaka w'e Misiri n'eggye lye. Abakungu be abalondemu basaanyeewo mu Nnyanja Emmyufu!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Amagaali ga Falaawo n'eggye lye yabisudde mu nnyanja: N'abakungu be be yalonda basaanyeewo mu Nnyanja Emmyufu.