Exodus 15:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'obusukkirivu bw'ekitiibwa kyo, abakuwakanya obalindizze wansi; wata obusungu bwo, ne bubakavvula ng'akasubi obusubi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu bukulu obw’ekitiibwa kyo, wamegga abalabe bo, wabalaga obusungu bwo, ne bubasiriiza ng’ebisasiro.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era mu bukulu obw'okusinga kwo obasuula abakulumba; Obusungu bwo bubuubuuka, ne bubookya ng'ebisasiro.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu buwanguzi bwo obujjuvu omegga abalabe bo. Obusungu bwo bubuubuuka, ne bubookya ng'ebisasiro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era mu bukulu obw'okusinga kwo obasuula abakulumba: Otuma obusuugu bwo, ne bubasiriiza ng'ebisasiro.