Exodus 15:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omulabe n'agamba nti: ‘Nzija kuwondera, mpambe. Nzija kugabanya omunyago, omwoyo gwange kinaagutoowolola. Nzija kusowola ekitala kyange, omukono gwange gunaabazikiriza.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omulabe n’ayogera nti, ‘Ka mbagobe, mbakwate. Nnaagabana omunyago; mbeemalireko eggoga. Nnaasowolayo ekitala kyange, ndyoke mbazikirize.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omulabe n'ayogera nti, ‘Naagoberera, n'atuuka, n'atwala omunyago Byenegomba byonna nja kubiggya kubo; Naasowola ekitala kyange, omukono gwange gulibazikiriza.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omulabe yagamba nti: ‘Nja kubawondera mbakwate, nja kugabanyaamu ebyobugagga byabwe, nneetwalire byonna bye njagala. Nja kugolola ekitala kyange, ntwale ebyabwe byonna.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omulabe n'ayogera nti Naagoberera, naatuuka, naagereka omunyago: Okwegomba kwange kunakkusibsva ku bo; Naasowola ekitala kyange, omukono gwange gulibazikiriza.