Exodus 16:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli ne kiva e Elimu, ne kituuka mu ddungu ery'e Sini, wakati wa Elimu ne Sinayi, ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogwokubiri bukya bava mu nsi y'e Misiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abaana ba Isirayiri, nga kibiina kinene, ne basitula okuva mu Erimu; ne batuuka mu ddungu lya Sini, eriri wakati wa Erimu ne Sinaayi, nga baakamala emyezi ebiri n’ennaku kkumi na ttaano kasookedde bava mu nsi y’e Misiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bava Erimu nga batambula, ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri ne batuuka mu ddungu lya Sini, eriri wakati wa Erimu ne Sinaayi, ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogwokubiri nga bamaze okuva mu nsi ey'e Misiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli ne kiva mu Elimu, era ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogwokubiri kasookedde bava mu nsi ey'e Misiri, ne batuuka mu ddungu ly'e Siini, eriri wakati wa Elimu ne Sinaayi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bava Erimu nga batambula, ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri ne batuuka mu ddungu lya Sini, eriri wakati wa Erimu ne Sinaayi, ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogw'okubiri nga bamaze okuva mu nsi ey'e Misiri.