Exodus 16:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Aroni bwe yali ng'ayogera n'ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli, ne bakyukira eddungu. Gye baakuba amaaso nga ku kitiibwa ky'Omukama, kirabise mu kire.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo olwatuuka, Alooni bwe yali ng’akyategeeza ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri, ne batunula mu ddungu; era, laba, ekitiibwa kya Mukama ne kirabikira mu kire.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo, Alooni bwe yali ng'ayogera n'ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri, ne batunuulira mu ddungu; laba, ekitiibwa kya Mukama ne kirabika mu kire.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Arooni bwe yali ng'ayogera n'ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli, ne bakyuka ne batunula mu ddungu, amangwago ekitiibwa kya Mukama ne kirabika mu kire.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo, Alooni bwe yali ng'ayogera n'ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri, ne batunuulira mu ddungu; laba, ekitiibwa kya Mu kama ne kirabika mu kire.