Exodus 16:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mpulidde okwemulugunya kw'Abayisirayeli. Bagambe bw'oti nti: ‘Akawungeezi, munaalya ennyama, ate ku makya munakkuta emigaati. Olwo munaamanya nti nze Mukama, Katonda wammwe.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mpulidde okwemulugunya kw’abaana ba Isirayiri. Bagambe nti, ‘Obudde nga buwungeera munaalya ennyama, n’enkya munakkusibwa emmere. Bwe mutyo munaategeera nga nze Mukama Katonda wammwe.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Mpulidde okwemulugunya kw'abaana ba Isiraeri; bagambe, ng'oyogera nti, ‘Olweggulo munaalya ennyama, n'enkya munakkuta emmere; nammwe munaamanya nga nze Mukama Katonda wammwe.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mpulidde okwemulugunya kw'Abayisirayeli. Bagambe nti: ‘Olweggulo munaalya ennyama, n'enkya munaalya emmere ne mukkuta. Olwo munaamanya nga Nze MUKAMA Katonda wammwe.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mpulidde okwemulugunya kw'abaaaa ba Isiraeri: obagambe, ng'oyogera nti Olweggulo munaalya ennyama, n'enkya munakkuta emmere; nammwe munaamanya nga nze Mukama Katonda wammwe.