Exodus 16:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe gwakala, ne walabikawo mu ddungu obuntu obuli ng'obubooya obwekulungirivu ku ttaka, ate nga buli ng'obuweke bw'omuzira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omusulo nga gwamuse ng’obudde bukaze, laba, ku ttaka ne kulabikako obuntu obutono obwekulungirivu obufaanana ng’omusulo ogukutte olw’obunnyogovu obungi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olufu olwagwa bwe lwaggwako, laba, ne wabaawo kungulu w'eddungu akantu akatono akeekulungirivu, akagonvu ng'omusulo naye nga kakwafu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omusulo bwe gwaggwaawo, akantu akatono akeekulungirivu ne kalabika ku ttaka mu ddungu. Kaali kagonvu ng'omusulo, naye nga kakwafu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Olufu olwagwa bwe lwaggwaako, laba, ne wabaawo kungulu w'eddungu akantu akatono akeekulungirivu, akatono ng'omusulo omukwafu oguba ku nsi,