Exodus 16:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abayisirayeli bwe baalaba kino, ne bagambagana nti: “Kiki kino?” Kubanga baali tebakimanyi. Musa n'agamba nti: “Eyo ye mmere Omukama gy'abawadde okulya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaana ba Isirayiri bwe baabulaba ne beebuzaganya nti, “Kiki kino?” Kubanga baali tebakimanyi. Musa n’abategeeza nti, “Eno ye mmere Mukama gy’abawadde okulya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaana ba Isiraeri bwe baakiraba ne bagambagana bokka na bokka nti, “Kiki kino?” Kubanga tebaamanya bwe kyali. Musa n'abagamba nti, “Eyo ye mmere Mukama gy'abawadde okulya.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayisirayeli bwe baakalaba, ne batakategeera. Ne beebuuzaganya nti: “Kiki kino?” Musa n'abagamba nti: “Eyo ye mmere, Mukama gy'abawadde okulya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaana ba Isiraeri bwe baakiraba ne bagambagana bokka na bokka nti Kiki kino? kubanga tebaamanya bwe kyali. Musa n'abagamba nti Eyo ye mmere Mukama gy'abawadde okulya.