Exodus 16:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baapima mu komeri, eyakuŋŋaanya ennyingi teyamuyitirira, n'eyakuŋŋaanya entono teyajula; buli omu yali ng'akuŋŋaanyizza gye yali yeetaaga okulya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe baagipimiranga mu kabakuli aka oma, ze lita ebbiri, oyo eyali akuŋŋaanyizza ennyingi teyasukkirizanga, n’oyo ow’entono nga teyeeseera. Buli muntu yakuŋŋaanyanga ng’okwetaaga kwe bwe kwabanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe baageranga mu kkomero, eyakuŋŋaanya ennyingi n'atafissaawo, era eyakuŋŋaanya entono n'ateetaaga; baakuŋŋaanya buli muntu nga bw'alya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe baagipimanga, eyabanga akuŋŋaanyizza ennyingi, nga temuyitirirako, n'eyabanga akuŋŋaanyizza entono, ng'afuna emumala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe baageranga mu kkomero, eyakuŋŋaanya ennyingi n'atafissaawo, era eyakuŋŋaanya entono n'ateetaaga; baakuŋŋaanya buli muntu nga bw'alya.