Exodus 16:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye abantu abamu ne batawuliriza Musa, ne baterekako okutuusa enkeera. Yajjamu envunyu, n'ewunya ekivundu. Musa n'abasunguwalira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyokka abamu Musa tebaamufaako; ne beeterekerako okutuusa enkeera; n’ezaala envunyu, era n’ewunya. Musa n’abasunguwalira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Musa ne batamuwulira; naye abamu mu bo ne balekawo okutuusa enkya, n'ezaala envunyu, n'ewunya: Musa n'abakwatirwa obusungu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye abamu ne batawulira Musa, ne balekawo ey'enkya. N'ezaala envunyu, n'ewunya. Musa n'abasunguwalira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Musa ne batamuwulira; naye abamu mu bo ne balekawo okutuusa enkya, n'ezaala envunyu, n'ewunya: Musa n'abakwatirwa obusungu.