Exodus 16:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baagikuŋŋaanyanga buli nkya okusinziira ku buli omu ky'alya; obudde bwe bwakaalaamanga, ng'eseebengerera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli nkya ne bakuŋŋaanyanga buli omu gye yayinzanga okulya nga anaagimalawo; naye akasana bwe kaayakanga nga kakazizza, n’esaanuuka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bakuŋŋaanya buli nkya, buli muntu nga bw'alya; era omusana bwe gwayakanga n'ekereketa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli nkya buli muntu yakuŋŋaanyanga gy'anaalya n'amalawo. Omusana bwe gwayakanga, esigadde ku ttaka n'esaanuuka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bakunnaanya buli nkya, buli muntu nga bw'alya: era omusana bwe gwayakanga n'ekereketa.