Exodus 16:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abagamba nti: “Kino Omukama ky'alagidde: Enkya lunaku lwa kuwummula, ye Sabbaato eyawuliddwa Omukama. Mufumbe gye mwagala okufumba, mutokose gye mwagala okutokosa, esigaddewo mugitereke okutuusa enkya.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’abagamba nti, “ Mukama yalagidde bw’ati nti, ‘Enkya lunaaba lunaku lwa kuwummula, ye Ssabbiiti ya Mukama Entukuvu. Leero mwokye emmere yammwe gye mwetaaga okwokya, era mufumbe gye mwagala okufumba; eneeba esigaddewo mugyeterekere okutuusa enkya.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abagamba nti, “Ekyo Mukama kye yayogera nti, ‘Enkya kye kiwummulo ekikulu, Ssabbiiti entukuvu eri Mukama; mwokye bye mwagala okwokya, mufumbe bye mwagala okufumba; yonna esigalawo mweterekere ensibo okutuusa enkya.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa n'abagamba nti: “Ekyo Mukama kye yalagira, nti enkya lunaku lukulu, lwa kuwummulirako, Sabbaato, olunaku lwa Mukama olutukuvu. Mufumbe bye mwagala okufumba, mubugumye bye mwagala okubugumya. Emmere yonna esigalawo mugikuume, mugiterekere olwenkya.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abagamba nti Ekyo Mukama kye yayogera nti Enkya kye kiwummulo ekikulu, ssabiiti entukuvu eri Mukama: mwokye bye mwagala mufumbe bye mwagala okufumba; yonna esigalawo mweterekere ensibo okutuusa enkya.