Exodus 16:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Muwulire. Omukama yabassizaawo Sabbaato, kyava abawa emmere ya nnaku bbiri ku lwomukaaga. Ku lwomusanvu, buli omu mu mmwe asigalanga w'ali, tewabanga ava mu kifo kye.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mutegeere nga Mukama abawadde Ssabbiiti; ku lunaku olw’omukaaga kyava abawa emmere ya nnaku bbiri. Buli muntu abeerenga mu maka ge nga tafulumye n’akatono ku lunaku olw’omusanvu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mulabe, kubanga Mukama abawadde Ssabbiiti, kyava abawa ku lunaku olw'omukaaga emmere ey'ennaku ebbiri; mutuule buli muntu mu kifo kye, tavanga omuntu yenna mu kifo kye ku lunaku olw'omusanvu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mulabe, Nze MUKAMA, mbawadde Sabbaato, kyenva mbawa ku lunaku olw'omukaaga, emmere eneebamazaako ennaku ebbiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mulabe, kubanga Mukama abawadde ssabbiiti, kyava abawa ku lunaku olw'omukaaga emmere ey’ennaku ebbiri; mutuule buli muntu mu kifo kye, tavanga omuntu yenna mu kifo kye ku lunaku olw'omusanvu.