Exodus 16:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abayisirayeli ne babagamba nti: “Singa nno omukono gw'Omukama gwatuttira mu nsi y'e Misiri gye twatuuliranga ku ntamu z'ennyama, ne tulya emmere ne tukkuta. Naye mmwe mwatuleeta mu ddungu muno ekibiina ky'abantu bano bonna okukissa enjala.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaana ba Isirayiri ne babagamba nti, “Singa twasigala mu nsi y’e Misiri, Mukama n’atuttira eyo n’omukono gwe! Kubanga eyo twalyanga sefuliya z’ennyama, n’emmere nnyingi nga bwe twayagalanga, ne tukkuta; naye kaakano mutuleese mu ddungu lino, ekibiina kino kyonna kife enjala.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
abaana ba Isiraeri ne babagamba nti, “Waakiri olw'omukono gwa Mukama twandifiiridde mu nsi ey'e Misiri, bwe twali tutudde awali entamu ez'ennyama, bwe twali tulya emmere nga tukkuta; kubanga mwatuleeta mu ddungu lino, okutta ekibiina kino kyonna n'enjala.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
nga bagamba nti: “Waakiri Mukama yandituttidde mu nsi ey'e Misiri, gye twatuulanga awali entamu z'ennyama n'emmere, ne tulya ne tukkuta. Naye mwatuleeta mu ddungu lino, mulyoke mussise ekibiina kino kyonna enjala.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
abaana ba Isiraeri ne babagamba nti Waakiri twandifiiridde olw'omukono gwa Mukama mu nsi ey'e Misiri, bwe twali tutudde awali entamu ez'ennyama, bwe twali tulya emmere nga tukkuta; kubanga mwatufulumya mu ddungu lino, okutta ekibiina kino kyonna n'enjala.