Exodus 16:31 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Emmere eyo ennyumba ya Yisirayeli yagituuma Manu. Yali efaanana ng'ensigo za jjada; yali njeru, ate obuwoomi bwayo nga buli ng'amandaazi omuli omubisi gw'enjuki.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ab’omu nnyumba ya Isirayiri, emmere eyo ne bagiyitanga maanu. Yali efaanana ng’akasigo ka koliyanda, nga njeru; ng’ewoomerera ng’obusukuuti obufumbiddwa n’omubisi gw’enjuki.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ennyumba ya Isiraeri ne bagiyita erinnya lyayo Maanu; ng'efaanana ng'ensigo za jada, enjeru; n'obuwoomerevu bwayo bufaanana ng'emigaati egy'omubisi gw'enjuki.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayisirayeli ne batuuma emmere eyo erinnya Mannu. Yali efaanana ng'akasigo akatono akeeru, era ng'ewoomerera ng'obugaati obukoleddwa mu mubisi gw'enjuki.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ennyumba ya Isiraeri ne bagiyita erinnya lyayo Manu: n'efaanana ng'ensigo za jada, enjeru; n'obuwoomerevu bwayo bufaanana ng'emigaati egy'omubisi gw'enjuki.