Exodus 16:33 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa n'agamba Aroni nti: “Ddira ekibya okisseemu komeri nnamba eya manu, ogisse mu maaso g'Omukama, eterekerwe bazzukulu bammwe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Musa n’agamba Alooni nti, “Ddira akabakuli osseemu maanu ejjuza oma, ze lita bbiri, obungi, ogisse awali Mukama, eterekerwe ab’emirembe egigenda okujja.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa n'amugamba Alooni nti, “Twala ekibya osse munda kkomero ejjudde maanu, okiteeke mu maaso ga Mukama, ensibo y'emirembe gyammwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa n'agamba Arooni nti: “Twala ekibya, oteekemu kilo bbiri eza mannu, okiteeke mu maaso ga Mukama, kiterekebwe olwa bazzukulu baffe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa n'amugamba Alooni nti Twala ekibya osse munda kkomero ejjudde manu, okiteeke mu maaso ga Mukama, ensibo y'emirembe gyammwe.