Exodus 16:35 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abayisirayeli baalya manu okumala emyaka ana, okutuusa lwe baatuuka mu nsi ebeerekamu. Baalya manu okutuusa lwe baatuuka ku nsalo n'ensi y'e Kanaani.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaana ba Isirayiri ne balya maanu okumala emyaka amakumi ana, okutuusa lwe baatuuka mu nsi omuli abantu. Baalya maanu okutuusa lwe baatuuka ku nsalo ya Kanani.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaana ba Isiraeri ne baliira maanu emyaka ana (40), okutuusa lwe baatuuka mu nsi ey'abantu; ne balya maanu okutuuka mu nsalo ez'ensi ya Kanani.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayisirayeli ne baliira mannu emyaka amakumi ana, okutuusa lwe baatuuka mu nsi ya Kanaani ebeerekamu abantu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaana ba Isiraeri ne baliira manu emyaka amakumi ana, okutuusa lwe baatuuka mu nsi ey'abantu; ne balya manu okutuuka mu nsalo ez'ensi ya Kanani.