Exodus 16:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'agamba Musa nti: “Nze nzija kubatonnyeseza emigaati nga giva mu ggulu. Buli lunaku abantu banaafulumanga ebweru ne bakuŋŋaanya emmere ebamala olunaku olwo. Ka mbageze ndabe oba batambulira mu tteeka lyange oba nedda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Nzija kubatonnyeseza emmere ng’eva mu ggulu. Abantu banaakuŋŋaanyanga buli lunaku ekitundu eky’olunaku olwo; ndyoke mbagezese ndabe obanga banaakwatanga amateeka gange, oba tebaagakwatenga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'alyoka agamba Musa nti, “Laba, nditonnyesa emmere okuva mu ggulu ku lwammwe; n'abantu balifuluma okukuŋŋaanya ekitundu eky'olunaku buli lunaku, ndyoke mbakeme nga banaatambuliranga mu mateeka gange oba tebaatambulirengamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'agamba Musa nti: “Kaakano ŋŋenda okubatonnyeseza emmere okuva mu ggulu. Abantu banaafulumanga buli lunaku okukuŋŋaanya emmere ebamala olunaku olwo. Mu ngeri eyo ndyoke mbageze, ndabe oba nga banaakuumanga amateeka gange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'alyoka agamba Musa nti Laba, nditonnyesa emmere okuva mu ggulu ku lwammwe; n'abantu balifuluma okukuŋŋaanya ekitundu eky'olunaku buli lunaku, ndyoke mbakeme nga banaatambuliranga mu mateeka gange oba tebaatambulirengamu.