Exodus 16:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku lunaku olwomukaaga banaategekanga kye banaayingiza; kinaabanga kya mirundi ebiri ng'ogerera ku kye bakuŋŋaanya buli lunaku.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lunaku olw’omukaaga bwe banaabanga bakuŋŋaanya emmere ey’olunaku olwo, bakuŋŋaanyanga eyenkanaankana n’ey’ennaku bbiri.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olunaatuukanga ku lunaku olw'omukaaga banaateekateekanga gye baliyingiza, era eneesinganga emirundi ebiri gye bakuŋŋaanya buli lunaku.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku olw'omukaaga banaakuŋŋaanyanga ne bayingiza ya mirundi ebiri ku eyo gye bakuŋŋaanya buli lunaku.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olunaatuukanga ku lunaku olw'omukaaga banaateekateekanga gye baliyingiza, era eneesinganga emirundi ebiri gye bakuŋŋaanya buli lunaku.