Exodus 16:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa ne Aroni ne bagamba ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli nti: “Akawungeezi, mujja kumanya ng'Omukama ye yabaggya mu Misiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Musa ne Alooni ne bagamba abaana ba Isirayiri bonna nti, “Obudde nga buwungeera, we munaategeerera nga Mukama ye yabaggya mu nsi y’e Misiri:
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa ne Alooni ne bagamba abaana ba Isiraeri bonna nti, “Olweggulo lwe munaamanya nga Mukama ye yabaggya mu nsi ey'e Misiri;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Musa ne Arooni ne bagamba Abayisirayeli bonna nti: “Olwaleero olweggulo munaamanya nga Mukama ye yabaggya mu nsi ey'e Misiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa ne Alooni ne bagamba abaana ba Isiraeri bonna nti Olweggulo lwe mulimanya nga Mukama ye yabaggya mu nsi ey'e Misiri: