Exodus 16:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate ku makya munaalaba ekitiibwa ky'Omukama, kubanga awulidde okwemulugunya kwammwe. Naffe ffe baani be mwemulugunyiza!”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ate enkya lwe munaalaba ekitiibwa kya Mukama, kubanga awulidde nga mumwemulugunyiza. Kubanga naffe ffe b’ani mmwe okutwemulugunyiza?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era enkya lwe munaalaba ekitiibwa kya Mukama; kubanga awulidde bwe mumwemulugunyiza; naffe ffe baani, n'okwemulugunya ne mwemulugunyiza ffe?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era enkya munaalaba ekitiibwa kya Mukama, kubanga awulidde bwe mumwemulugunyiza. Kale ffe baani, mulyoke mwemulugunyize ffe?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era enkya lwe muliraba ekitiibwa kya Mukama; kubanga awulidde okwemulugunya kwammwe ku Mukama: naffe ffe baani, n'okwemuluguaya ne mwemulugunyiza ffe?