Exodus 16:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa n'agamba nti: “Akawungeezi, Omukama anaabawa ennyama ey'okulya, ate enkya anaabawa emigaati ne mukkuta, kubanga Omukama awulidde okwemulugunya kwammwe. Naffe ffe baani? Temwemulugunyiza ffe, mwemulugunyiza Mukama.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Musa n’ayongera okubagamba nti, “Mujja kwongera okutegeera Mukama, olweggulo nga buwungeera bw’anaabawa ennyama ne mulya, ate enkya n’abawa emmere ebamala: kubanga Mukama awulidde nga mumwemulugunyiza. Naffe ffe b’ani? Temwemulugunyiza ffe, wabula Mukama.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa n'ayogera nti, “Kino kinaabaawo, Mukama bw'anaabawa olweggulo ennyama okulya, n'enkya emmere okukkuta; kubanga Mukama awulidde okwemulugunya kwammwe kwe mumwemulugunyiza; naffe ffe baani? Temwemulugunyiza ffe, wabula Mukama.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Musa n'agamba nti: “Olweggulo Mukama ye anaabawa ennyama, ne mulya, n'enkya ye anaabawa emmere ne mukkuta, kubanga awulidde bwe mumwemulugunyiza. Naye ffe baani? Temwemulugunyiza ffe, wabula mwemulugunyiza Mukama.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa n'ayogera nti Kino kinaabaawo, Mukama bw'anaabawa olweggulo ennyama okulya, n'enkya emmere okukkuta; kubanga Mukama awulidde okwemulugunya kwammwe kwe mumwemulugunyiza: naffe ffe baani? Temwemulugunyiza ffe, wabula Mukama.