Exodus 16:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa n'agamba Aroni nti: “Ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli bagambe bw'oti nti: ‘Musembere mu maaso g'Omukama, kubanga awulidde okwemulugunya kwammwe.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Musa n’agamba Alooni nti, “Tegeeza ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri nti, ‘Musembere awali Mukama, kubanga awulidde okwemulungunya kwammwe!’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa n'agamba Alooni nti, “Gamba ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri nti, ‘Musembere mu maaso ga Mukama, kubanga awulidde okwemulugunya kwammwe.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa n'agamba Arooni nti: “Gamba ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli nti: ‘Musembere mu maaso ga Mukama, kubanga awulidde okwemulugunya kwammwe.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa n'agamba Alooni nti Bagambe ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri nti Musembere mu maaso ga Mukama: kubanga awulidde okwemulugunya kwammwe.