Exodus 17:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli ne kisitula okuva mu ddungu ly'e Sini, nga batambula ng'Omukama bwe yabalagiranga; ne basiisira e Refidimu kyokka awataali mazzi ga bantu kunywa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri ne kisitula okuva mu ddungu lya Sini, ne batambula ng’ekiragiro kya Mukama bwe kyali. Ne bakuba eweema zaabwe mu Lefidimu, naye nga tewaliiwo mazzi bantu ge banaanywa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri ne batambula okuva mu ddungu lya Sini, nga bagenda basula, nga Mukama bwe yabalagira. Ne basiisira mu Lefidimu, naye nga tewaaliyo mazzi ga kunywa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayisirayeli bonna ne bava mu ddungu ly'e Siini, ne batambula nga bagenda basula, nga Mukama bwe yabalagiranga. Ne basiisira mu Refidiimu, naye tewaaliyo mazzi ga kunywa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri ne batambula okuva mu ddungu lya Sini, mu bisulo byabwe, mu kiragiro kya Mukama, ne basula mu Lefidimu; so nga tewali mazzi abantu banywe.