Exodus 17:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yoswa n'akola nga Musa bwe yamugamba n'agenda okukwatagana ne Amaleki; Musa ne Aroni ne Kuru bo ne balinnya ku ntikko y'akasozi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yoswa n’akola nga Musa bwe yamulagira, n’alwana n’Abamaleki. Musa ne Alooni ne Kuli ne bambuka ku ntikko y’olusozi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yoswa n'akola bwatyo nga Musa bweyamulagira, n'alwana n'Abamaleki; Musa ne Alooni ne Kuuli ne balinnya ku ntikko y'olusozi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yoswa n'akola nga Musa bwe yamulagira, n'agenda n'alwana n'Abameleki. Musa ne Arooni ne Kuri ne balinnya ku ntikko y'olusozi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'akola bw'atyo Yoswa nga bwe yamulagira Musa, n'alwana n'Abamaleki: Musa ne Alooni ne Kuli ne balinnya ku ntikko y'olusozi.