Exodus 17:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa bwe yawanikanga emikono, Yisirayeli ng'agoba; bwe yagissanga, olwo Amaleki nga y'agoba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Musa bwe yawanikanga emikono gye, Abayisirayiri nga bagoba, naye bwe yagissanga, nga Abamaleki bagoba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka Musa bwe yayimusanga omukono gwe, Isiraeri n'agoba; bwe yassanga omukono gwe, Abamaleki ne bagoba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa bwe yayimusanga emikono gye, Abayisirayeli ne bawangula. Bwe yassanga wansi emikono gye, Abameleki ne bawangula.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka Musa bwe yayimusa omukono gwe, Isiraeri n'agoba: bwe yagussa omukono gwe, Abamaleki ne bagoba.