Exodus 17:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'agamba Musa nti: “Kino kiwandiike mu kitabo ng'ekijjukizo, ne Yoswa kimusse mu kutu nti: ‘Nzija kusangulirawo ddala wansi w'eggulu Abaamaleki kwe bandijjuukiriddwa.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Kino kiwandiike mu kitabo kiryoke kijjukirwenga ennaku zonna, era Yoswa asaana akimanye, kubanga Abamaleki ŋŋenda kubasangulirawo ddala ku nsi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'agamba Musa nti, “Wandiika ekyo mu kitabo okubeera ekijjukizo, okibuulire Yoswa mu matu ge; nga ndisangulira ddala okujjukirwa kwa Amaleki wansi w'eggulu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Mukama n'agamba Musa nti: “Wandiika ekyo mu kitabo, kiryoke kijjukirwenga, era buulira Yoswa nti ndisaanyizaawo ddala Abameleki ku nsi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'agamba Musa nti Wandiika ekyo mu kitabo okubeera ekijjuluzo okibuulire Yoswa mu matu ge: nga ndisangulira ddala okujjukirwa kwa Amaleki wansi w'eggulu.