Exodus 17:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga yagamba nti: “Kwata bendera y'Omukama. Omukama wa kulwanyisa Amaleki mu mazadde n'amazadde.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’agamba nti, “Kubanga Mukama alayidde okulwanyisa Abamaleki emirembe gyonna.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'ayogera nti, “Mukama alayidde; Mukama alirwana ne Amaleki emirembe n'emirembe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'agamba nti: “Muwanirire ebbendera ya Mukama! Mukama anaalwananga n'Abameleki ennaku zonna.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'ayogera nti Mukama alayidde: Mukama alirwana ne Amaleki emirembe n'emirembe.