Exodus 17:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu nga babonaaboneddeyo ennyonta, ne beemulugunyiza Musa, ne bagamba nti: “Lwaki watuggya e Misiri, okutussiza kuno ennyonta ffe n'abaana baffe n'amagana gaffe?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye abantu ennyonta y’amazzi n’ebaluma, ne beemulugunyiza Musa. Ne bagamba nti, “Lwaki watuggya mu Misiri, ennyonta okututtira wano, ffe n’abaana baffe n’ebisibo byaffe?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu ne baba n'ennyonta eyo ey'amazzi, abantu ne beemulugunyiza Musa, ne boogera nti, “Lwaki watuggya e Misiri, okututta ffe n'abaana baffe, n'ebisibo byaffe n'ennyonta?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu ne balumibwa nnyo ennyonta y'amazzi, ne beemulugunyiza Musa, ne bagamba nti: “Lwaki watuggya e Misiri okutussa ennyonta, ffe n'abaana baffe n'ensolo zaffe?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abantu ne baba n'ennyonta eyo ey'amazzi, abantu ne bamwemulugunyiza Musa, ne boogera nti Lwaki watuggya e Misiri, okututta ffe n'abaana baffe n'ebisibo byaffe n'ennyonta?