Exodus 17:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa n'awanjagira Omukama, n'agamba nti: “Abantu bano nnaabakolera ki? Mu bbanga ttono bajja kunkuba amayinja.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Musa n’akaabira Mukama nti, “Abantu bano mbakole ntya? Baabano baagala kunkuba mayinja.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa n'akaabirira Mukama ng'ayogera nti, “Naabakola ntya abantu bano? Babulako katono bankube amayinja.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa ne yeegayirira Mukama ng'agamba nti: “Abantu bano mbakolere ki? Banaatera okunkuba amayinja!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa n'amukaabirira Mukama ng'ayogera nti Naabakola ntya abantu bano? babulako katono bankube amayinja.