Exodus 17:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nzija kuyimirira awo mu maaso go ku lwazi lw'e Korebu. Ojja kukuba olwazi, lujja kuvaamu amazzi, banywe.” Musa bwe yakola n'abakulu b'Abayisirayeli nga weebali.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nange nzija kukwesooka mu maaso nyimirire ku lwazi e Kolebu, onookuba olwazi ne muvaamu amazzi abantu banywe.” Musa n’akola bw’atyo nga n’abakulembeze ba Isirayiri balaba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba nze n'ayimirira mu maaso go eyo ku lwazi ku Kolebu; naawe onookuba olwazi, amazzi ganaavaamu, abantu banywe.” N'akola bw'atyo Musa mu maaso g'abakadde ba Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nze nja kuyimirira mu maaso go eyo ku lwazi, ku Lusozi Horebu, ggwe okube olwazi, muveemu amazzi, abantu banywe.” Musa n'akola bw'atyo mu maaso g'abakulembeze b'Abayisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba nze naayimirira mu maaso go eyo ku lwazi ku Kolebu; naawe onookuba olwazi, amazzi ganaavaamu, abantu banywe. N'akola bw'atyo Musa mu maaso g'abakadde ba Isiraeri.