Exodus 17:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekifo n'akituuma Massa ne Meriba olw'okuyomba kw'Abayisirayeli n'olw'okugeza Omukama nga bagamba nti: “Omukama ali naffe, oba nedda?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekifo ekyo n’akituuma erinnya Masa ne Meriba, olw’okuyomba kw’abaana ba Isirayiri, n’olw’okugezesa Mukama nga bagamba nti, “ Mukama waali mu ffe oba taliiwo?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'atuuma ekifo ekyo erinnya Masa ne Meriba, olw'okuyomba kw'abaana ba Isiraeri, n'okuba nga baageza Mukama, nga boogera nti, “Mukama ali mu ffe, nantiki?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'atuuma ekifo ekyo erinnya Massa ne Meriba, kubanga Abayisirayeli baayomba ne bageza Mukama nga bagamba nti: “Mukama ali wamu naffe?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'atuuma ekifo erinnya lyakyo Masa ne Meriba, olw'okuyomba kw'abaana ba Isiraeri, n'okuba nga baakema Mukama, nga boogera nti Mukama ali mu ffe nantiki?