Exodus 18:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yeturo kabona w'e Midiyaani, mukoddomi wa Musa, n'awulira byonna Katonda bye yali akoledde Musa n'eggwanga lye Abayisirayeli, era ng'Omukama bwe yali aggye Yisirayeli mu Misiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesero, kabona w’e Midiyaani, era kitaawe wa mukyala wa Musa, n’awulira byonna Katonda bye yakolera Musa n’abantu be, Abayisirayiri; era nga Mukama yaggya Isirayiri mu Misiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesero, kabona wa Midiyaani, mukoddomi wa Musa, n'awulira byonna Katonda bye yakolera Musa ne Isiraeri abantu be, nti Mukama yaggyamu Isiraeri mu Misiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yetero kabona w'e Midiyaani, kitaawe wa muka Musa, n'awulira byonna Katonda bye yakolera Musa n'Abayisirayeli, abantu be, bwe yabaggya mu Misiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yesero, kabona wa Midiyaani, mukoddomi wa Musa, n'awulira byonna Katonda bye yakolera Musa ne Isiraeri abantu be, nti Mukama yaggyamu Isiraeri mu Misiri.