Exodus 18:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'agamba nti: “Omukama agulumizibwe eyabawonya ng'abaggya mu mikono gy'Abamisiri ne mu gya Faraawo, eyawonya abantu ng'abaggya mu mikono gy'Abamisiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesero n’agamba nti, “ Mukama atenderezebwe eyabanunula mu mikono gy’Abamisiri ne mu mukono gwa Falaawo, n’aggya abantu be mu mikono gy’Abamisiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesero n'ayogera nti, “Yeebazibwe Mukama eyabalokola mu mukono gw'Abamisiri, ne mu mukono gwa Falaawo; eyalokola abantu mu mukono gw'Abamisiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'agamba nti: “Mukama atenderezebwe, eyabawonya kabaka n'abantu b'e Misiri!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yesero n'ayogera nti Yeebazibwe Mukama eyabalokola mu mukono gw'Abamisiri, ne mu mukono gwa Falaawo; eyalokola abantu mu mukono gw'Abamisiri.