Exodus 18:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yeturo mukoddomi wa Musa n'aweereza Katonda ekitambiro ekyokye n'ebyonziira, ne Aroni n'ajja n'abakulu b'Abayisirayeli ne batuula ku kijjulo mu maaso ga Katonda awamu ne mukoddomi wa Musa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yesero, mukoddomi wa Musa, n’awaayo eri Katonda ekiweebwayo ekyokye ne ssaddaaka endala; Alooni n’abakulembeze ba Isirayiri bonna ne balya ne mukoddomi wa Musa emmere mu maaso ga Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesero mukoddomi wa Musa, n'atwala ekiweebwayo ekyokebwa ne ssaddaaka eri Katonda; Alooni n'ajja, n'abakadde bonna aba Isiraeri, balye emmere awamu ne mukoddomi wa Musa mu maaso ga Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yetero, kitaawe wa muka Musa, n'aleeta ekirabo ekiweebwayo eky'okwokya nga kiramba, n'ebitambiro ebirala eby'okuwaayo eri Katonda. Arooni n'abakulembeze bonna ab'Abayisirayeli ne bajja okulya ekijjulo awamu ne kitaawe wa muka Musa, mu maaso ga Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yesero mukoddomi wa Musa, n'atwala ekiweebwayo ekyokebwa ne ssaddaaka eri Katonda: Alooni n'ajja, n'abakadde bonna aba Isiraeri, balye emmere awamu ne mukoddomi wa Musa mu maaso ga Katonda.