Exodus 18:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Enkeera, Musa n'atuula ku ntebe ye okulamula abantu; ne bayimirira nga bamwetoolodde okuva enkya okutuusa akawungeezi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo bwe bwakya enkya, Musa n’atuula ku ntebe ye okulamula abantu. Abantu ne bamwetooloola okuva enkya okutuusa akawungeezi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka enkya, Musa n'atuula okulamula abantu, abantu ne bayimirira nga beetoolodde Musa okuva enkya okutuusa akawungeezi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku olwaddirira, Musa n'atuula okulamula abantu. Abantu ne babeera awo nga bamwetoolodde, okuva ku makya okutuusa olweggulo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka enkya Musa n'atuula okubalamula abantu: abantu ne bayimirira nga beetoolodde Musa okusooka enkya okutuusa olweggulo.