Exodus 18:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mukoddomi wa Musa bwe yalaba byonna bye yakoleranga abantu, n'amubuuza nti: “Kiki kino ky'okolera abantu? Lwaki otuula wano wekka abantu ne bakwetooloola okuva ku makya okutuusa akawungeezi?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukoddomi we bwe yalaba Musa bye yali akolera abantu, n’amugamba nti, “Kiki kino ky’okola? Lwaki olamula bw’omu, abantu bano bonna ne bayimirira okukwetooloola okuva ku nkya okutuusa akawungeezi?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukoddomi wa Musa bwe yalaba byonna bye yakolera abantu, n'ayogera nti, “Kiki kino ky'okolera abantu? Lwaki ggwe wekka ggwe otudde, abantu ne baba nga bayimiridde okukwebungulula, okuva enkya okuzibya obudde.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yetero bwe yalaba byonna Musa by'akolera abantu, n'abuuza nti: “Kiki kino ky'okolera abantu? Lwaki okola obw'omu wekka, abantu ne babeera awo nga bakwetoolodde okuva ku makya okutuusa olweggulo?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukoddomi wa Musa bwe yalaba byonna bye yakolera abantu, n'ayogera nti Kiki kino ky'okolera abantu? Lwaki ggwe wekka ggwe otudde, abantu ne baba nga bayimiridde okukwebungulula, okuva enkya okuzibya obudde.