Exodus 18:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe babaako enkaayana, bajja gye ndi ne mbatawulula, ne mbayigiriza ebiragiro bya Katonda n'amateeka ge.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli lwe babeera n’obutakkiriziganya, bajja gye ndi, ne mbasalirawo, era ne mbategeeza amateeka ga Katonda n’ebiragiro bye.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
bwe baba n'ekigambo, ne bajja gye ndi; nange mbasalira omusango omuntu ne munne, ne mbategeeza amateeka ga Katonda, n'ebiragiro bye.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe baba n'obutategeeragana, bajja gye ndi ne mbasalirawo ensonga zaabwe, era mbategeeza amateeka ga Katonda n'ebiragiro bye.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
bwe baba n'ekigambo, ne bajja gye ndi; nange mbasaalira omusango omuntu ne munne, ne mbategeeza amateeka ga Katonda, n'ebiragiro bye.