Exodus 18:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye londa mu bantu bonna abasajja abamu, abeesobola, abatya Katonda, abeesigwa, ate abaakyawa enguzi, obafuule abakulembeze b'enkumi z'abantu, n'ebikumi, n'ataano n'amakumi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Londayo abasajja abalina ebisaanyizo, ng’obaggya mu bantu bonna, abasajja abatya Katonda, ab’amazima era abatalya nguzi; obawe obukulembeze, ng’abamu bavunaanyizibwa abantu enkumi, n’abalala abantu ebikumi, n’abamu ebibiina eby’ataano n’abalala eby’ekkumi kkumi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nate olonde mu bantu bonna abasajja abasaana, abatya Katonda ab'amazima, abakyawa amagoba agatali ga butuukirivu; obakuze ku bo, babe abakulu b'enkumi, n'abakulu b'ebikumi, n'abakulu b'ataano, n'abakulu b'amakumi;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era mu bantu bonna, londamu abasajja ab'amagezi, abassaamu Katonda ekitiibwa ab'amazima era abakyawa enguzi, obateekewo okukulira abantu. Wabeewo abakulira enkumi, n'abakulira ebikumi, n'abakulira amakumi ataano ataano, n'abakulira ekkumi kkumi,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nate olonde mu bantu bonna abasajja abasaana, abatya Katonda, ab'amazima, abakyawa amagoba agatali ga butuukirivu; obakuze ku bo, babe abakulu b'enkumi, n'abakulu b'ebikumi, n'abakulu b'amakumi ataano, n'abakulu b'amakumi: