Exodus 18:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abo be baba balamula abantu obudde bwonna; ensonga ennene ze baba bakuleetera; entono bo bazimale. Bw'onoogabanya bw'otyo omugugu gwo mu balala, banaakwetikkirako ne gukuwewukira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bawe obuyinza okulamulanga abantu ebbanga lyonna, naye ng’emisango emizibu bagikuleetera, emisango emyangu bo bagisalenga. Ekyo kinaawewulanga ku buzito bw’omugugu gwo, kubanga banaabanga bagukukwatirako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
babasalire emisango ebiseera byonna; kale buli nsonga nnene banaagikuleeteranga ggwe, naye buli nsonga ntono banaagiramulanga bokka, bwe kityo kinaabeeranga kyangu ku ggwe, nabo baneetikkanga wamu naawe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
balamulenga abantu ebiseera byonna. Ensonga ennene ze baba bakuleeteranga, naye ensonga entono bazimalenga bo bennyini. Bwe batyo banaakwetikkirako omugugu, ne kikwanguyiza ku mulimu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
babasalire abantu omusango ebiseera byonna: kale buli nsonga nnene banaagikuleeteranga ggwe, naye buli nsonga ntono banaagiramulanga bokka: bwe kityo kinaabeeranga kyangu ku ggwe, nabo baneetikkanga wamu naawe.