Exodus 18:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bw'onookola otyo, n'otuusa ne Katonda ky'alagidde, ojja kusigala ng'oli mugumu, n'abantu bonna bano banaddangayo ewaabwe nga bamatidde.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Singa okola bw’otyo, nga ne Katonda bw’akulagidde, ojja kusobola okugumira emirimu egyo, era n’abantu bano bonna balyoke baddeyo ewaabwe nga basanyuse.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'olikola ekigambo ekyo, era Katonda bw'alikulagira bw'atyo, n'olyoka oyinza okugumiikiriza ggwe, n'abantu abo bonna baligenda mu kifo kyabwe mu mirembe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bw'onookola ekyo, era nga Katonda ky'akulagidde, teweemalengamu ndasi, era abantu bano bonna banaddangayo mu maka gaabwe nga balina emirembe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'olikola ekigambo ekyo, era Katonda bw'alikulagira bw'atyo, n'olyoka oyinza okugumiikiriza ggwe, n'abantu abo bonna baligenda mu kifo kyabwe mu mirembe.