Exodus 18:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
erinnya ly'omulala nga ye Eliyezeri: ng'agamba nti “Katonda wa kitange ye muyambi wange ye yamponya ekitala kya Faraawo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’erinnya ly’omulala lyali Eryeza, kubanga yagamba nti, “Katonda wa kitange ye yali omubeezi wange, era n’amponya ekitala kya Falaawo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'erinnya ery'omulala Eryeza; kubanga yayogera nti, “Katonda wa kitange yali mubeezi wange, n'amponya mu kitala kya Falaawo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'erinnya ery'omwana omulala ye Eliyezeeri, kubanga Musa yagamba nti: “Katonda wa kitange yannyamba, n'amponya okuttibwa kabaka w'e Misiri.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'erinnya ery'omulala Eryeza; kubanga yayogera nti Katonda wa kitange yali mubeezi wange n'amponya mu kitala kya Falaawo: